Dr Stella Nyanzi olunnaku olw’enkya ku Lwokuna nga 22, November, 2018 akomezebwawo mu kkooti ya Buganda Road, wansi w’omulamuzi Gladys Kamasanyu, okutegezebwa webatuuse mu kunoonyereza ku misango egyamugulwako.
Dr Nyanzi avunaanibwa emisango gy’okuvoola n’okutyoboola ekitiibwa ky’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni wamu ne nnyina eyava edda mubulamu obweensi eno Esteri Kokundeka, ng’akozesa omutimbagano.

Okusinzira ku Ludda oluwaabi, Dr Nyanzi yasobola okweyambisa omutimbagano gwa ‘Face book’ nga 16 September, 2018, okuwandiika ebigambo ebikyamu.
Wabula nga 9, November, 2018, yatabukira mu kkooti, ab’oludda oluwaabi okwefula nti banoonyereza ate ng’emisango egyamukwasa ebigambo bikyali ku Face Book.
Mungeri y’emu yagaana okweyimirirwa era nasuubiza okweyambisa akaseera ng’ali ku limanda mu kkomera e Luzira, okusomesa abakyala engeri gye bayinza okweyambisa emitimbagano gya yintanenti okuwandiika ensonga zabwe nga bayimbuddwa.