Poliisi ekoze ekikwekweeto mu bitundu bya Kampala n’emirirwano mwekwatidde abantu n’okusingira ddala abavubuka 331 abateberezebwa okwenyigira mu kutigomya abantu.

Abakwatiddwa bagiddwa mu bitundu okuli Kisenyi, Nakivubo, Makindye, Kawala, Kibuli, Kibuye, Salaama, Katwe ne  Kasubi era kigambibwa benyigira mu kubba ensawo z’abakyala, okunyakula amassimu, basangiddwa n’ebintu ebiteberezebwa okubeera ebibbe, okunywa enjaga n’ebiragalaragala ebirala.

Abakwate bakuumibwa ku Poliisi ezenjawulo omuli CPS mu Kampala, Jinja Road, Natete, Katwe, Wandegeya ne Kabalagala ku misango egyenjawulo omuli obubbi.

Okusinzira kw’adduumira Poliisi mu bitundu bya Kampala n’emirirwano Moses Kafeero Kabugo, ebikwekweeto bikyagenda mu maaso okukwata abantu bonna abesomye okutigomya Bannakampala mu biseera by’ennaku enkulu ezikubye kkoodi.