Kyaddaki Omulangira David Kintu Wasajja ayogedde amazima ekyavuddeko akabenje k’eryato akasse abantu abasukka 30 ku lunnaku Lwomukaaga ekiro.

Omulangira David Wasajja
Omulangira David Wasajja

Omulangira Wasajja asambaze ebibadde biyitingana nti eryato lyabaddeko abantu bangi nnyo ekyaviriddeko abantu okufa.

Omulangira asangiddwa mu makaage ku kyalo Nagulu, Lungujja, agamba nti eryato lyabaddeko obuzibu era kirabika babadde baliggya mu galagi okanikibwa kyayise “Mechanical Problem”.

Mungeri y’emu agambye nti abantu abafudde bangi baabadde tebambadde “Life Jackets” ate abamu baabadde tebamanyi kuwuga.

Semakula Luttamaguzi
Semakula Luttamaguzi

Ku nsonga eyo, omubaka we Nakaseke South, Paulson Kasana Semakula Luttamaguzi asabye Omulangira Wasajja okuba eky’okulabirako eri abantu abalala kuba kyabadde kiswaza okubeera omu kwabo ababadde ku lyato n’abaana abato okulya obulamu nga tebambadde Life Jackets.