Omuyimbi Sheebah Kalungi awanjagidde bekikwatako omuli Gavumenti n’ebitongole ebikuuma eddembe, (Poliisi n’amaggye) okuteekawo embeera y’okwekeneenya entambula y’oku mazzi okutangira abantu okufa nga bwegwabadde olunnaku Olwomukaaga abantu okufiira mu nnyanja Nalubaale, emanyikiddwa nga Lake Victoria.
Sheebah agamba nti abakulu mu byentambula, abateekeddwa okwekeneenya embeera y’amaato ku mazzi, okutangira abantu okufa mu ngeri eyinza okwewalika.

Mu kuwayaamu naffe, Sheebah asasidde nnyo n’abantu bonna abafiiriddwako abantu babwe mu kabenje k’eryato era asabye bannayuganda bonna okutekayo omutima okwekeneenya embeera y’amaato agagenda okubatambuza.
Embeera eyo, ewaliriza Sheebah okuyungula amazima olw’obungi bw’abantu abafudde omuli ne mikwano gye.