Omugagga Yoweri Musumba y’omu ku bantu abafiiridde mu nnyanja Nnalubaale mu kabenje keryato ku Lwomukaaga.
Ssemaka Musumba abadde mutuuze ku kyalo Bwebajja ku lw’Entebbe mu disitulikiti y’e Wakiso era alese abaana 5 ebizimbe ebiwerako mu Kampala n’amaka amatiribona.

Omugenzi abadde taata omuto ow’omubaka David Lukyamuzi Kalwanga ow’e Busujju.

Nnamwandu Imelda Musumba asabye Gavumenti okunoonyereza ennyo ekyavuddeko akabenje n’okwongera okwekeneenya omutindo gw’amaato agatambuza abantu ku mazzi okutangira obubenje okuddamu.

Ebifaananyi bya Bukedde