Omuyimbi Iryn Namubiru alemereddwa okwogerako eri bannamawulire era atulise nakaaba bwajjukidde ebyaliwo sabiti ewedde ku Lwomukaaga kuba y’omu kwabo abaali ku lyato eryasse abantu abasukka 30 ku nnyanja Nnalubaale.
Namubiru yasimatuka okufa n’abantu abenjawulo omuli Omulangira David Kintu Wasajja, Freeman Kiyimba n’abalala abasukka 20.
Enkya ya leero, abadde aleeteddwa okwogerako eri bannamawulire b’omukutu ogwa BBC ne 100.2 Galaxy FM, ku Serena Hotel e Kigo kyokka embeera emutabuseeko, bwajjukidde ebyaliwo ku Lwomukaaga, naatulika n’akaaba.
Manejja we ategerekeseko erya Kawooya, asobodde okumuwoyawooya n’okumugumya kyokka embeera negaana, era balinye emmotoka yaabwe tebavaawo ku Hotel.