Agava mu kibuga Dubai, omuyimbi Lydia Jazmine n’omuvubuka nkubakyeyo mu Canada Umar Musoke amanyikiddwa ng’omuyimbi Prince Umar bali mu mapenzi.

Jazmine yagenda mu Dubai okukuba omuziki kyokka tekimanyiddwa oba Prince Umar yamuteekamu ssente.

Prince Umar
Prince Umar

Ebifaananyi ebiva mu Dubai n’okusingira ddala ku Malina Beach Jazmine ne Prince Umar balabiddwako nga balya obulamu ng’eno ggaayi bwaweeweeta Jazmine ekkundi n’okwekuba obuwuna wakati mu mukwano.

Lydia Jazmine ne Prince Umar
Lydia Jazmine ne Prince Umar

Okusinzira ku kigatto waffe mu Dubai, obubonero wakati wa Jazmine ne Prince Umar bulaga nti baagalana era kigambibwa Jazmine yagabudde Prince Umar ebyalo okubitabaala n’okusumulula ku nsulo.