Ekitongole ekikuuma eddembe ekya Poliisi kisiimye abantu abenjawulo abasobodde okuyambako okutakiriza obulamu bw’abantu n’okunyulula emirambo gy’abo, abagudde mu nnyanja Nnalubaale oluvanyuma olw’eryato kwe baali batambulira ku Lwomukaaga okwebika mu mazzi.
Okusinzira kw’akulira ebikwekweeto mu kitongole ekya Poliisi Asuman Mugenyi, abantu babuligyo bakoze nnyo okuyambako okutebenkeza embeera.
Abalala abasimbiddwa ye mugagga Brain Kirumira amanyikiddwa nga Bryan White owa Bryan White Foundation, abakulembeze mu disitulikiti y’e Mukono n’omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni okulambika Poliisi ebitekeddwa okukolebwa ku ntambula y’oku mazzi oluvanyuma lw’abantu abasukka 30 okufa.

Mugenyi bw’abadde eyogerako eri bannamawulire ku Mutima Beach, agambye nti mu kiseera kino, bakafuna abantu 4, abakyanoonya abantu baabwe era balina okutebereza nti emirambo gy’abantu abo, gikyali mu mazzi oba nga basimattuka ne baduuka ne bekweka, olw’okutya n’ekiyongobero.

Wabula Bryan White okuyamba abantu n’okutekawo ssente okunoonya emirambo, abamu ku babaka ba Palamenti tebakisanyukidde omuli owa Kampala Central mu Muhammad Nsereko n’abalala era bagala Palamenti okunoonyereza ebikwata ku Bryan White kuba bewunyiza okumulaba ku Mutima Beach e Mukono nga y’omu kwabo abalagira abasirikale eky’okukola okusobola okuzuula emirambo gy’abantu.