Ku Lwokutaano nga 30, November, 2018, Kirabu Amnesia eyali ejjaguza okuweza emyaka 7 mu kuwereza bulungi n’okusanyusa Bannakampala.
Abantu babadde bangi ddala era byanabiwala ebyamyuka ebithambi ng’amatungulu byetiriboosezza emibiri ng’ebiwendule era kabuze katono abasajja batugibwe amalusu.
Omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa ng’omuyimbi Bobi Wine yeyakulembeddemu abayimbi okukyamula abadigize.
Abadigize bonna bagabuddwa eky’okulya ekya keeki ate eby’okunywa byabadde ku beeyi yawansi nnyo.
Mu kiseera kino, ‘Club Amnesia’ yesinga omutindo mu Kampala, erina ba DJ abalungi nnyo n’abakozi abategeera bakasitoma.























