Abavubi ku nnyanja Nnalubaale emanyikiddwa nga Lake Victoria banyigidde bannayuganda abagambye nti bakwese emirambo gy’abantu abagwa mu nnyanja sabiti ewedde ku lyato erya ‘MV templar’ okusobola okugyeyambisa okukwata ebyenyanja.
Okuva sabiti ewedde, ekibooziboozi kibadde kiri mu bantu nti emirambo egimu gyakwekeddwa abavubi era bagenda kugyeyambisa okusembeza ebyennyanja bikwatibwe.

Wabula abavubi nga bakulembeddwamu Lawrence Ssempijja omutuuze we Buzindeere mu disitulikiti y’e Mukono, agambye nti abavubi bonna basalawo okuyamba abantu okubataasa okufa awatali ssuubi lya kusasulwa wadde 100 kyokka kibamalamu amaanyi abantu okulowooza nti bakweka emirambo okusobola okukwata ebyenyanja.
Ssempijja agamba nti embeera eyo, eremesa abantu abalina omutima omulungi okuyamba, ekintu ekyobulabe mu ggwanga.
Eddoboozi lya Ssempijja