Omulamuzi wa kkooti esokerwako e Gulu Isaac Imoran Kintu ayongezaayo omusango oguvunanibwa omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu ne banne 34 okutuusa nga 19, January, 2019.
Enkya ya leero, oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Paul Weponde lutegezeza omulamuzi Kintu nti bakyanoonyereza kuba Poliisi ekyalemeddwa okubawa obujulizi era asabye kkooti okwongezaayo omusango.
Omulamuzi Kintu akiriziganyiza n’okusaba kw’oludda oluwaabi era omusango agwongezaayo okutuusa 19, January, 2019.
Omulamuzi era alagidde oludde oluwaabi okwanguyiriza mu kunoonyereza nga kivudde ku munnamateeka wa Bobi Wine ne banne Henry Komakech Kilama, okutegeeza nti abantu be batambula eng’endo empanvu okuva e Kampala, Arua okugenda mu kkooti era basasaanya ssente mpitirivu nnyo.
Bobi Wine avunaanibwa ogw’okulya mu nsi olukwe ne banne omuli omubaka w’ekibuga Arua, Kassiano Wadri, Jinja East, Paul Mwiru, Gerald Karuhanga owa Ntungamo, Michael Mabike eyali owa Makindye East.
Ate abantu babuligyo mulimu John Ssebuufu, Tom Asiku, Tamale Wlberforce, Eddy Mutwe, William Nyanzi Musisi, Juma Amidu, Shabani Atiku, Isamil Kasule, Nelson Mandela, Simon Obeti, Habib Osega, Benald Andama, John Bosco Odongo n’abalala.
Enkya ya leero, ku bantu 34 abavunaanibwa, kulabiseeko 26 mu kkooti era Bobi Wine agambye nti omubaka Gerald Karuhanga ne Paul Mwiru balina emirimu emitongole gye bateekeddwa okukola mu Palamenti ate abantu abamu balwadde omuli Atiku.