Kkooti enkulu mu Kampala erangiridde 10, December, 2018 okutandiika okuwuliriza omusango gw’obutemu oguvunaanibwa omusuubuzi Ivan Katongole.
Katongole yakwatibwa ku by’okutta abakyala babiri mu bitundu bye Ntebbe okuli Rose Namuli eyali omutuuze ku kyalo Mpala ne Sarah Wanyana myaka 17 eyali omutuuze ku kyalo Jjumba.
Poliisi yakwata Katongole nga 24, July, 2017 ne mikwano gye omuli Andrew Kizito ne Hellen Nabagala era mu ssiimu ya Katongole mwasangibwamu ebifaananyi bya bawala abatibwa.
Nga 9, September, 2017, omulamuzi wa kkooti esookerwako e Ntebbe Mary Kaitesi, yasindiika Katongole ne banne mu kkooti enkulu ku misango gy’obutemu kyokka omusango gwabwe, gubadde teguwulirwanga.
Katongole ng’ayita mu bannamateeka be Evans Ochieng ne Caleb Alaka yaduukira mu kkooti enkulu okusaba okweyimirirwa kyokka, okusaba kwe ne kugaanibwa.
Okusinzira ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Rachel Bikhole, Katongole singa ayimbulwa, ayinza okutataaganya okunoonyereza ate nga Ssaabawaabi wa Gavumenti (DPP), yamuguddeko emisango emiggya egy’obutemu ate emisango gyaliko gya naggomola.
Wabula omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Wilson Kwesiga, alangiridde sabiti ejja ku Mmande nga 10, December, 2018 okutandiika okuwuliriza omusango gwo.