Poliisi y’e Makasa ekutte abantu 3 ku by’okutta omusajja Ronald Matovu.
Abakwatiddwa kuliko Achileo Bunya, Robert Kayondo ne Lawrence Kakeeto nga bonna batuuze ku kyalo Bulemba mu ggoombolola y’e Buwunga mu disitulikiti y’e Masaka.
Okusinzira ku Poliisi, Ssemaka Achileo Bunya yasobodde okupangisa abatemu okutta Matovu, ng’amulumiriza okwagala mukyala we Rose Namata.
Kigambibwa ssemaka Bunya, yasooka kupangisa mutuuze munne John Bosco Musooke, okutta Matovu omulimu nagugaana, kwekufuna Robert Kayondo ne Lawrence Kakeeto, abagambibwa nti batukiriza omulimu okutta omusajja Matovu ku mitwalo 70 abadde ateeberezebwa okutabaala ebyalo by’omukyala Rose Namata.
Adduumira Poliisi y’e Masaka James Kule agambye nti abakwate baguddwako omusango gw’obutemu kyokka yekokodde obwenzi obusukkiridde eri abafumbo mu kitundu kyabwe.
Ate ssentebbe w’ekyalo Bulemba Gonzaga Kakeeto agambye nti abakyala okwagala nnyo ssente y’emu ku nsonga lwaki obwenzi busukkiridde era waliwo okutya nti obutemu bwandyeyongera.