Omuyimbi Jose Chameleone yetegese bulungi ddala okukola ebyafaayo mu kivvulu kye ekituumiddwa “Legend Saba Saba” sabiti eno ku Lwokutaano nga 7, December, 2018 ku Lugogo Cricket Oval.

Ekivvulu kyategekeddwa, Chameleone okujjaguza emyaka 20 mu kisaawe ky’okuyimba era kiwagiddwa kampuni ya MTN.

Chameleone agamba nti yetaaga obudde obuwanvu okusobola okuyimba ennyimba zonna eri abawagizi be era asuubira okulinya ku siteegi ku ssaawa 2:15 ez’ekiro.

Okusinzira ku kigatto waffe, Chameleone ayise abayimbi babiri (2) bokka okuyimba mu kivvulu kye omuli Weasel ne Pallaso era bebasubirwa okutandika.

Jose Chameleone, Pallaso ne Weasel
Jose Chameleone, Pallaso ne Weasel

Ku lwa MTN, akulira eby’amawulire Valery Okecho agambye nti basobodde okuwagira ekisaawe ky’okuyimba emyaka egiwera era betegefu okwongera okutumbula talenti z’abayimbi abato mu ggwanga lino.

Mungeri y’emu agambye nti Chameleone akoledde nnyo ekisaawe ky’okuyimba era bbo nga MTN bakwongera okumuwagira.