Aba famire bafulumiza alipoota ku kyavudde Charles Muhangi myaka 61 okuffa.

Muhangi yasangiddwa ng’afiridde makaage mu buliri ku kyalo Mawanga, Buziga mu ggoombolola y’e Makindye olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna ku makya.

Omulambo gwe, gwatwaliddwa aba A-Plus Funeral Management Co. Ltd mu ddwaaliro ekkulu e Mulago, okwekebejjebwa.

Okusinzira ku muganda w’omugenzi Elad Munanura, Muhangi omutima gwayabise ekyavuddeko okufa kwe.

Okwekebejja omulambo gwa Mugangi, kwakulembeddwamu akulira abasawo mu kitongole ekya Poliisi Moses Byaruhanga nga ne famire yakikiriddwa omusawo wabwe.

Munanura agamba nti omugenzi yagiddwako sampo (sample) endala zebagenda okwekebejja okuzuula ekyavuddeko omutima okwabika.

Omugenzi Muhangi alese Nnamwandu Patience Muhangi n’abaana 7.

Olunnaku olwaleero, bagenda kulangirira entekateeka z’okuziika.

Muhangi yazaalibwa September 20, 1957 ku kyalo Bumbire, mu ssaza ly’e Igara mu disitulikiti y’e Bushenyi (kati disitulikiti y’e Sheema).

Eby’okusoma yabikomya ku S4 gye yatuulira ku St. Mary’s College e Kabale mu myaka gya 1980 ne yeegatta ku kitaawe eyali mu bizinensi ey’ebyentambula.