Kyaddaki ssentebbe w’ekibiina kya NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni ayagala bateekewo etteeka okutwala eby’obugagga by’omuntu yenna asingisiddwa omusango gw’okulya enguzi mu ggwanga lino.

Museveni agamba nti abantu okulya enguzi basukkiridde okulemesa entekateeka za Gavumenti omuli okuzimba amalwaliro, amassomero, enguudo n’ebintu abirala.

Mungeri y’emu yekokodde abasirikale mu kitongole kya Poliisi eky’okunguudo nti abasukkiridde okulya enguzi wadde bangu nnyo bakwatibwa poliisi.

Museveni bwe yabadde mu kisaawe e Kololo ku mukolo Uganda kwe yeegattidde ku nsi yonna okulwanyisa obuli bw’enguzi, yanokoddeyo abakulu abasinga okulya enguzi mu ggwanga lino nga bakulembeddwamu omuwandiisi w’eggwanika ly’eggwanga, abakulira eby’emirimu ku disitulikiti n’abakulembeze abalala.

Lt Col Edith Nakalema
Lt Col Edith Nakalema

Ku nsonga y’abantu okwenyigira mu kulwanyisa enguzi, Museveni agamba nti bannansi bateekeddwa okweyambisa woofiisi ya Lt. Col. Edith Nakalema, eyateekeddwawo okuyambako, Kaliisoliiso wa Gavumenti, Irene Mulyagonja okuloopa abantu bonna mu bitundu byabwe, abenyigidde mu kubulankanya ssente z’eggwanga.

Mungeri y’emu alabudde ekitongole ekya Poliisi okukomya okukwata abantu n’okusingira ddala abavubuka ku misango gy’obwa kirereesi.

Agamba nti tewali nsonga yonna omuntu yenna ng’ali mu ggwanga lye okukwatibwa obwa kirereesi.