Omuyima w’akabinja ka Bodaboda 2010 Abdul Kitatta, enkya ya leero akomezebwawo mu kkooti ya maggye e Makindye ekubirizibwa ssentebe Lt Gen Andrew Gutti.

Mu kkooti, munnamateeka wa Kitatta ne banne, Shaban Sanywa agenda kuwa ensonga ezo lwaki awakanya obujjulizi obwaleetebwa oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Maj. Rapheal Mugisha ku misango egivunaanibwa abantu be eky’okusangibwa n’emmundu sako n’ebyambalo eby’ammagye.

Kitatta ne munnamateeka we Sanywa bagamba nti obujulizi bwonna bupangirire nga yewuunya okulaba nga baleeta bajaasi bokka, okumulumiriza  ekiraga nti beekobaana kumusibako emisango.

Mungeri y’emu agamba nti abajulizi bonna 4 abaleetebwa, temuli yakola kunoonyereza okumatiza kkooti, nti yasangibwa n’emmundu ssaako ebyambalo by’amaggye.

Amangu ddala nga munnamateeka Shaban Sanywa akomekereza okowolereza Kitatta ne banne, Kkooti esuubirwa okulangirira olunnaku okuwa ensala yaayo oba Kitatta ne banne balina omusango gwe bateekeddwa okwewozaako.