Poliisi y’e Soroti ekutte omusomesa Karoli Arorwa myaka 36 ku by’okusobya ku mwana myaka 13.

Omusomesa Arorwa asomesa ku Moru-apesur Primary School era kigambibwa olunnaku olw’eggulo yayise omu ku bayizi be okuva ku kyalo Teso Inn Cell, mu ggoombolola y’e Soroti namukozesa.

Kigambibwa omwana olw’okutya, yasobodde okutegeeza ku bazadde, abaddukidde ku Poliisi.

Wabula okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bya East Kyoga, Michael Odongo omusomesa Arorwa asangiddwa nga yeteekateeka okuduuka okuva ku kyalo, nakwatibwa.

Odongo era agambye nti omwana wakutwalibwa eri abasawo okumwekebejja nga singa kizulibwa nti yakozeseddwa, omusomesa Arorwa wakutwalibwa mu kkooti ku misango gy’okujjula ebitanajja.