Poliisi y’e Sheema ekutte omuwala  ku by’okutta muganzi we.

Provia Ashabahebwa omutuuze ku kyalo Rugarama mu ggoombolola y’e Sheema mu disitulikiti y’e Sheema yakwatiddwa ku by’okutta Difas Arinda myaka 21 ekiro ekikeseza olwaleero ku Lwokubiri.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Greater Bushenyi, Martial Tumusiime, omuwala Ashabahebwa yakyazizza muganzi we Arinda kyokka mu matumbi budde bafunye obutakaanya.

Embeera eyo ey’okulwanagana,  yawaliriza omuwala Ashabahebwa okukwata enkumbi, nagikuba Arinda ku mutwe, nafirawo.

Ashabahebwa akuumibwa ku Poliisi y’e Kabwohe ku misango gy’obutemu.

Abamu ku batuuze bagamba nti, entambwe yavudde ku muvubuka Arinda okwagala akaboozi mu bwangu ate ng’omuwala tayagala.