Poliisi ekutte abantu basatu (3) abateberezebwa okwenyigira mu kubba bodaboda mu disitulikiti y’e Mukono ne Wakiso.

abakwattiddwa ne baggalirwa ku poliisi y’e Bweyogerere kuliko  Lawrence Okello, Anthony Ouma abatuuze b’e Namuwongo n’omukyala Grace Kahunde ku by’okutigomya abatuuze mu bitundu bye Wakiso, Kampala ne Mukono.

Okusinzira ku Poliisi, abakwattiddwa bateberezebwa okwenyigira mu ttemu lya Wellaci Makumbi eyali avuga bodaboda, eyattibwa nga 30, November, 2018 nga yakubwa amasasi agamuttirawo e Bweyogerere.

Makumbi ng’attiddwa mu bukambwe, bodaboda ye namba UEN 922L ekika kya Bajaj Boxer yatwalibwa.

Luke Owoyesigyire
Luke Owoyesigyire

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, abakwate baguddwako emisango egyenjawulo omuli okubba n’obutemu nga Poliisi bwegenda mu maaso n’okunoonyereza.

Mungeri y’emu agambye nti abatemu baanokoddeyo mukwano gwabwe ategerekeseko nga Hassan nti yabakulira era yatereka emmundu gye baakozesa okutta Wellaci.