Obutakaanya wakati w’omuyimbi Moses Ssali (Bebe Cool) ne Alexander Bagonza amanyikiddwa nga Apass busemberedde okugwawo.
Olunnaku olw’eggulo, Bebe Cool bwe yabadde ayogerako eri bannamawulire e Kololo yakakasiza nti asobodde okugula ebyuma eby’omulembe okukwata “Audio ne Video” z’ennyimba mu ggwanga lino.
Bebe Cool era yagambye nti situdiyo empya egenda kuyamba nnyo okutumbula talenti mu bayimbi abato n’okuwa omwaganya abayimbi bonna mu ggwanga okukwata vidiyo ku mutindo gw’ensi yonna kuba yafunye ebyuma omuli kamera enungi ennyo, okusobola okuvuganya mu nsi yonna.

Kyokka bwe yabuziddwa oba n’abayimbi nga Apass banakkirizibwa mu situdiyo empya, Bebe Cool yagambye nti mu Uganda Apass y’omu ku bayimbi abakwata vidiyo eza layisi nnyo kuba talina ssente kyokka ye wakusasula akasente akatono, okumukwatira ennyimba zonna okusobola naye okuvuganya mu nsi yonna nga ye (Bebe Cool).
Bebe Cool agamba nti situdiyo tegenda kwawulamu bayimbi wadde ekibiina kyonna kuba avuddeyo okutumbula talenti mu bannayuganda n’ekibiina kye ekya Gagamel era n’abawagizi b’ekisinde kya “People Power” balina omukisa kuba ye ayagaliza buli muntu.