Omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Jane Francis Abodo enkya ya leero agenda kuwa ensala ye oba akiriza abantu 8 abakwatibwa ku by’okuwamba n’okutta Suzan Magara okwekebejjebwa abasawo ab’obwananyini.

Olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu, abantu 8 ku bakwatibwa basabye omulamuzi akirize bakeberebwe abasawo babwe, kkooti okakasa nti baatulugunyizibwa mungeri ezenjawulo omuli n’okubakubisa amasannyalaze bakirize nti benyigira mu kuwamba n’okutta Magara nga bakakwatibwa.

Abagambibwa okuwamba n'okutta Magara
Abagambibwa okuwamba n’okutta Magara

Bannamateeka babwe okuli Hakim Lubega ne Isaac Ssemakadde bagala alipoota ya basawo, yeyambisibwe mu kkooti enkulu oba abantu babwe okusasulwa olw’okutyobola eddembe lyabwe.

Olunnaku olw’eggulo munnamateeka w’oludda oluwaabi Nelly Asiku teyalabiseeko mu kkooti ekyawaliriza omulamuzi okwongezaayo okuwa ensala ye okutuusa olunnaku olwaleero ku Lwokuna.

Mu kkooti enkulu, basindikibwayo omwezi ogwomunaana omulamuzi Robert Mukanza owa Buganda Road ku misango gy’okuwamba n’okutta Suzan Magara.
Nga bakyali ku Buganda Road, Omulamuzi yagoba okusaba kwabwe okufuna abasawo okubekebejja kuba takirizibwa nga okusaba kwabwe kuteekeddwa kuwulirwa kkooti enkulu yokka.

Susan Magara yawambibwa nga February 7, 2018 era ne bamutta mu kiro ekyakeesa February 27 nga bamumazizza mu buwambe wiiki ssatu, omulambo ogwali gusaliddwaako engalo ne bagusuula e Kitiko-Birongo mu Makindye Ssaabagabo.