Abantu 6 basindikiddwa ku Limanda mu kkomera e Masaka Central Prison ku misango gy’obutemu, ogezaako okutta abantu, okwokya essomero n’okwonoona ebintu nga kivudde ku muliro ogwakwata essomero lya St Bernard’s Mannya Secondary School mu disitulikiti y’e Rakai, ogwatta abayizi 10 mu November, 2018.

Banno okuli Henry Talemwa myaka 12, Alex Mugarura myaka 18, Edson Nivo myaka 22, Dickson Kisuule myaka 18 nga bonna bayizi ku ssomero eryo.

Abalala kuliko Michael Tayebwa akulira eby’okukuuma abayizi ku ssomero n’omusirikale corporal Stephen Nziyimaana okuva ku Poliisi y’e Mmanya.

Bonna basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Christopher Adyeeri era baguddwako emisango 11 egy’obutemu n’okugezaako okutta abantu, 33 okwokya essomero n’okwonoona ebintu.

Omulamuzi Adyeeri abasindise mu kkomera ku limanda okutuusa nga 19th January 2019 nga kivudde ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Amina Agasa okutegeza kkooti nti okunoonyereza kukyagenda mu maaso.

Wabula akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu bitundu bya Masaka Livingstone Lutamaguzi agambye nti bakyanoonya Joseph Sserunjogi akulira akwata ssente ku ssomero (school Bursar) kuba yasobodde okudduka Poliisi bwe yagenze mu makaage okumukwata.