Omuyimbi Bobi Wine asimatuse e kkomera, wabula omukozi we omu akwattiddwa Poliisi abitebye.
Kigambibwa Bobi yabadde alina ekivvulu e Jinja mu ekkiro ekikeseza olunaku lwa leero kyokka Poliisi nekiyimiriza ku ssaawa envanyuma.
Okusinzira ku Bobi Wine, Poliisi yazinzeeko City Hotel mu kibuga Jinja ekiro, okubakwata kyokka tamanyi nsonga lwaki kuba tebalina musango.
Mungeri y’emu agambye nti ye (Bobi Wine) asobodde okwekweka kuba bayinza okudda okumukwata nakubwa mu ngeri y’emu nga bwe kyali mu August, 2018 mu bitundu bye Arua.







