Abakwatiddwa kuliko Kuraish Lubuulwa (17), Ramathan Kabooyo amanyikiddwa nga Amooti (22) ne Experito Ssengoba (19) ku by’okutigomya abatuuze mu bitundu bye Katooke, Kibwa, Wamala, Nabweru, Lugoba, Kazo Nansana ne Kawempe.
Mu kikwekweeto ekyakoleddwa, abakwate baasangiddwa n’ebizibiti ebisukka 20.

Poliisi egamba nti abakwate balina enamba y’essimu, gye balekera nanyini mmotoka etwaliddwako Number Plate okusindiika ssente okusobola okugikomyawo era essaawa yonna batwalibwa mu kkooti ku misango gy’obubbi.