Kyaddaki mukyala mukulu wa Abdullah Kitatta eyali akulira bodaboda 2010 asabye omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni okuyingira mu nsonga z’omwami we okumutaasa ekkomera.
Enkya ya leero, kkooti y’amaggye e Makindye ebadde ekubirizibwa Lt. Gen. Andrew Gutti ekawangamudde bwetegezeza nti Kitatta ne banne 7 okuli Fred Bwanika, Ssekajja Ibrahim, Amon Twinomujuni, Matia Ssefuka, John Ssebandeke, Joel kibirige ne Sebbatta Hassan balina emisango gye balina okwewozaako.
Ate abantu basatu (3) okuli Jonathan Kayondo, Sunday Ssemogerere ne Hassan Ssengoba bejjerezeddwa.

Omusango, gwongezeddwayo okutuusa nga 7, January 2019 era Kitatta ne banne baziddwayo ku limanda mu kkomera wakati mu b’enganda okulukusa amaziga.
Embeera eyo, Mukyala wa Kitatta agambye nti Pulezidenti Museveni yekka yasigadde okuyamba okutaasa bba ekkomera.
Mungeri y’emu abikudde ekyama nti Kitatta yali mukozi wa Gen Kale Kayihura eyali omuduumizi wa Poliisi mu ggwanga era obudde obw’ekiro yamukubira ng’amassimu ku nsonga ezenjawulo nafuluma ennyumba obudde obw’ekiro.

Mukyala wa Kitatta era agambye nti bba yasaddaaka obudde bwe eri Gen Kayihura ne Gavumenti nalemwa okuwa abaana omukwano n’okutambuza ensonga z’amaka kyokka mu kiseera kino bamwefuulidde.
Omukyala abadde mu maziga agambye nti kyewunyisa bba okumugulako omusango gw’okusangibwa n’emmundu amasasi, ebyambalo by’amaggye mu ngeri emenya amateeka, ebintu ebijweteke n’ekigendererwa eky’okumusiba ebbanga eddene.
Agamba nti alina abaana okuli owa S4 ne P7 n’abalala nga balina okusoma kyokka bba singa asibwa, abaana bayinza obutasoma era y’emu ku nsonga lwaki asabye Pulezidenti Museveni n’abakulembeze abalala okuyamba okumutaasa ekkomera mu mbeera yonna.