Omulamuzi wa kkooti esokerwako e Wakiso Martin Kirya akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo yagobye okusaba kwa Ssemaka Abubaker Kalungi eyakwatibwa ku misango gy’okutta eyali adduumira Poliisi y’e Buyende Muhammad Kirumira.
Kalungi yasabye omulamuzi okunoonyereza ku ngeri gye bamutulugunya nga yakakwatibwa era bamukuba nnyo mu ngeri y’okumutulugunya.
Mungeri y’emu ayagala omulamuzi amukirize afune obujanjaba n’okwekebejjebwa okuva mu basawo be kuba mu kkomera ali mu mbeera embi, yenna alumizibwa mu nnyingo kyokka tafunaanga bujjanjabi mu kkomera.

Munnamateeka wa Kalungi, Ssakka Seggwanyi asabye omulamuzi okweyambisa obuyinza bwe, okusalawo ku nsonga eyo kuba omuntu we yetaaga obujanjabi.
Wabula oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Mariam Kamushaba lusimbidde ekkuli byonna ebisabiddwa Kalungi kuba munnamateeka we Seggwanyi alemeddwa okumatiza kkooti nti omuntu we bamutulugunya.
Omulamuzi agobye okusaba kwa Kalungi era omusango gwayongezeddwayo okutuusa nga 9, January, 2019, nga kivudde ku ludda oluwaabi era okutegeeza kkooti nti bakyanoonyereza.
Ab’oluganda lwa Kalungi avunaanyibwa omusango gw’okutta omusirikale Muhammad Kirumira ne Resty Nnaalinnya Mbabazi bagamba nti omuntu wabwe talina musango era y’emu ku nsonga lwaki Gavumenti eremeddwa okufuna obujjulizi.