Omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road Gladys Kamasanyu alangiridde nga 10, January, 2019 okuwa ensala ye oba kisaanidde okugoba omusango n’okuyimbula DR. Stella Nyanzi oba okulagira oludda oluwaabi okugenda mu maaso n’okuleeta abajjulizi.
Dr Nyanzi avunaanibwa emisango egyenjawulo omuli okuvoola n’okutyoboola ekitiibwa ky’omukulembeze w’eggwanga lino Museveni Kaguta Museveni wamu ne nnyina eyava edda mu bulamu obw’ensi eno Esteri Kokundeka, ng’akozesa omutimbagano nga 16 September, 2018.
Nyanzi yagaana eby’okumweyimirira n’ategeeza omulamuzi nti kaasigale e Luzira asobole okuyigiriza basibe banne abakyala engeri gye bakozesaamu Facebook era amaze emyezi ebiri mu kkomera e Luzira.
Olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu, oludda oluwaabi lwabadde lwetegefu okutandiika okulumiriza Nyanzi era lwazze n’abajulizi bana (4) okwabadde abapoliisi ne looya Dalton Opwonya, atuula ku kakiiko akalwanyisa obuseegu aka ‘pornographic committee’ mu ggwanga lino Uganda.

Mu kkooti, munnamateeka Opwonya yabadde asitusse atandiike okulumiriza Nyanzi looya we, Isaac Ssemakadde kwe kutegeeza omulamuzi Kamasanyu nti balina ensonga ez’amaanyi zebetaaga okutegeza kkooti n’okulaga nti Nyanzi talina musango wabula okugibwako omusango.
Ssemakadde yasobodde okuwa ensonga ezenjawulo omuli okutegeeza kkooti nti abaggula ku Nyanzi emisango baakola ensobi mpitirivu ezitakkirizibwa mu mateeka kubanga tosobola kuddira musango gumu ate n’ogugattamu emisango emirala nga etaano era kamu ku kabonero akalaga nti omuntu yenna talina musango gwona.
Omulamuzi Kamasanyu yasabye obudde okwetegereza ensonga za munnamateeka Ssemakadde okusobola okuwa ensala ye nga 10, January, 2019.