Poliisi ekutte abantu 6 ku by’okuwamba abantu n’okubba number plates z’emmotoka mu bitundu bye Fortportal.
Abakwatiddwa kuliko Mugume Amos amanyikiddwa nga Kaboy, Muhereza Kesta, Isingoma Deogratius, Mugabo Robert Amara Joram, Ategeka Sedrasi ne Marunga Cristine era bonna bakumibwa ku Poliisi y’e Kabarole.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Senior Superintendent of Police (SSP) Emilian Kayima, abakwatte bakutwalibwa mu kkooti bavunaanibwe amangu ddala nga bakomekereza okunoonyereza.
Kayima era agambye nti enkolagana enungi wakati wa Poliisi n’abatuuze b’e Fortportal y’emu ku nsonga lwaki abantu ng’abo bakwattiddwa.