Omuvubuka Godfrey Wamala atemera mu gy’obukulu 28 eyakwatibwa ku by’okutta abadde nakinku mu kuwandiika ennyimba n’okuziyimba Mowzey Radio enkya ya leero, atwalibwa mu kkooti esokerwako Entebbe okusomerwa emisango egyamuguddwako.

Omugenzi Mowzey Radio
Omugenzi Mowzey Radio

Wamala bangi ku bannayuganda bamutegera nga Troy, yakwatiddwa ku Ssande okuva e Kyengara kubigambibwa nti yeyakuba Radio era ebisago bye yafuna, byavirako okuffa kwe sabiti ewedde mu Case Hospital mu Kampala.

Olunnaku olwaleero, agenda kugibwa mu kaduukulu ka Poliisi Entebbe, okutwalibwa mu kkooti.

Luke Owoyesigire
Luke Owoyesigire

Wabula okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigire, Poliisi efunye obujjulizi obumala era Godfrey Wamala agenda kugulwako gwa butemu, gwatekeddwa okwewozaako bwanaba asindikiddwa mu kkooti enkulu, ewuliriza emisango gya nagomola