Abategesi b’ebivvulu balangiridde nga 3, January, 2019, okusisinkana omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni mu makaage e Ntebbe okwebuuza ku ky’okulemesa Bobi Wine okuyimba mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.

Abategesi nga bakulembeddwamu Abbey Musinguzi amanyikiddwa nga Abtex, bagamba nti bafiriddwa buwanana bwa ssente okulanga Bobi Wine okuyimba kyokka nalemesebwa Poliisi ku ssaawa evanyuma.

Abtex agamba nti omukulembeze w’eggwanga yekka yasigadde okutegeeza eggwanga oba Bobi Wine takirizibwa kuyimba mu ggwanga lino kuba bakooye okufiirwa ssente zabwe.

Poliisi eremeseza Bobi Wine okuyimba mu bifo bya mirundi 4 omuli ekivvulu kye Gulu, Jinja, Ggaba ne One Love Beach Busabala ku Boxing Day nga 26, December, 2018.