Abatuuze ku kyalo Rwengaju mu ggoombolola y’e Busoro mu disitulikiti y’e Kabarole baguddemu ekikangabwa, mutuuze munaabwe bwasangiddwa ng’attiddwa.

Saidi Kakanga abadde avuga sipensulo, omulambo gwe, gusangiddwa nga gwokeddwa ku kyalo Busamba mu ggoombomola y’e Kabonero mu diditulikiti y’e Bunyangabu.

Okusinzira kw’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku Poliisi y’e Fort Portal, Godliver Twinomugisha, abatemu bageenze n’essimu y’omugenzi Kakanga, eyabadde eyambako okwanguwa okunoonyereza abenyigidde mu tteemu.

Omulambo gutwaliddwa mu ddwaaliro e Fort Portal era Poliisi etandiise okunoonyereza.

Kakanga yabuzibwawo nga 24, December, 2018 abantu abatanamanyika okuva mu kibuga Fort Portal era emmotoka gy abadde avugga sipensulo UBD 026C yasangiddwa ku kyalo Busamba.