Poliisi y’e Kamuli etandiise okunoonyereza abatemu abenyigidde mu kutta omukyala Brenda Katushabe myaka 45 abadde omutuuze ku kyalo Bwoko mu ggoombolola y’e Nabuwigulu mu disitulikiti y’e Kamuli.
Katushabe yattiddwa akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna era omulambo gwe gwasangiddwa mu kitaba ky’omusaayi mu lugya okumpi ne fumbiro.
Omulambo gwa Katushabe gwalabiddwa neyiba Sheilah Namukose eyakubye enduulu, ezasombodde abatuuze, abakubidde Poliisi essimu.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Busoga North Michael Kasadha, omulambo gwatwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaaliro lye Kamuli General Hospital okwekebejjebwa.
Mungeri y’emu agambye nti Poliisi, etandiise okunoonyereza abenyigidde mu tteemu eryo.