Poliisi y’e Sippi ezudde omulambo gw’omwana nga gusuliddwa mu mayinja mu disitulikiti y’e Kapchorwa.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Sippi Rogers Taitike, omwana Sandra Gogo myaka 15 abadde omutuuze ku kyalo Kurumbwo mu ggoombolola y’e Chema yeyatiddwa.

Sandra abadde asoma P6 ku Chema primary school.

Omulambo gwe gusangiddwako ebisago era kiteberezebwa nti basoose kumusobyako oluvanyuma nattibwa mu bukambwe.

Taitike agamba nti kiteberezebwa nti omwana yatugiddwa era omulambo gwe gutwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaaliro e Kapchorwa okwekebejjebwa.