Minisita w’ebyokwerinda General Elly Tumwine kyaddaki avuddemu omwasi ku nsonga za Poliisi okulemesa omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa Bobi Wine okuyimba mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.

Gen Tumwine agamba nti Poliisi yakweyongera okulemesa Bobi Wine okuyimba singa anasigala ng’agyemera amateeka.

Gen Tumwine bw’abadde ayogerako naffe ku lukomo lw’essimu agambye nti Bobi Wine atandiise okukopa emize gya Dr Kizza Besigye eyali Pulezidenti wa Forum for Democratic Change (FDC) okugyemera amateeka n’okutumbula enkola ya ‘Defiance’ ssaako n’okulemesa Pulogulamu za Gavumenti.

Mungeri y’emu agambye nti omuntu akulembeddemu okunafuya Gavumenti n’okugisiiga enziro, Gavumenti teyinza ku muzanyisa.

Ate ku nsonga z’okutyoboola eddembe ly’obuntu, Minisita General Tumwine agambye nti Bobi Wine naye asukkiridde okutyoboola eddembe ly’abantu abalala era Poliisi teyinza kumukiriza.

Agamba nti Bobi Wine tali waggulu w’amateeka, ateekeddwa okutukiriza byonna ebisabiddwa ekitongole kya Poliisi okusobola okunyweza ebyokwerinda.

Poliisi eremeseza Bobi Wine okuyimba mu bifo bya mirundi 4 omuli ekivvulu kye Gulu, Jinja, Ggaba ne One Love Beach Busabala ku Boxing Day nga 26, December, 2018.