Kyaddaki Tamale Mirundi ayogedde lwaki obutakaanya bweyongedde wakati w’omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ow’ekisinde kya People Power ne Dr Kizza Besigye owa Forum for Democratic Change (FDC).

Mirundi bw’abadde ku NBS TV enkya ya leero mu Pulogulamu One one One with Tamale Mirundi, agambye nti, ” Museveni tawangulwa era y’emu ku nsonga lwaki Bobi ne Besigye balina okulwanagana”.

Tamale Mirundi agambye nti ab’oludda oluvuganya balemeddwa okuwangula ssentebbe w’ekibiina kya NRM Yoweri Kaguta Museveni era y’emu ku nsonga lwaki balina okulwanagana ku buli nsonga yonna.

Mungeri y’emu agambye nti ab’oludda okuvuganya balina okwegata okusobola okuvuganya obulungi Museveni, ekintu ekibalemye era okulonda kwa 2021 Museveni yakuwangula dda.