Mu nsi yonna, ekitengula abasajja okuyoya waaya bitono nnyo era y’emu ku nsonga lwaki abakozi b’awaka (House Girl) beeyongedde okusigula abasajja abafumbo.
Abasajja bangi banyumirwa nnyo okulaba ku ‘bithambi’ by’abakyala, okusumulula obuswandi era ekidirira kwesa empiki z’omukwano.

Mu mbeera eyo, omuwala Tanasha Donna Oketch amaliridde okulemeza Zari Hassan okuddamu okwewuubira ku waaya ya Diamond Platnumz kuba ategeera kye bayita omukwano.
Wadde Zari mukyala mulungi, Tanasha naye muwala alabika bulungi era y’emu ku nsonga lwaki yasikiriza omutima gwa Platnumz.

Kigambibwa Tanasha y’omu ku bawala abalina omukwano era Platnumz teyejjusa kwesonyiwa Zari.
Mungeri y’emu Tanasha akoze buli kimu, omuli okwambala obugoye obulaga ebitundu by’omubiri n’ekigendererwa okulemesa Platnumz okuddamu okujjukira ebikwata ku Zari.
Abamu ku basajja bagamba nti, ‘Tanasha atukula era tewali mbeera yonna Platnumz gy’ayinza kwejjusa okusulawo vuvuzera ya Zari”