Pulezidenti w’eggwanga erya Sri Lanka Pallewatte Gamaralalage Maithripala Yapa Sirisena alagidde omuwandiisi w’ensonga z’ebyokwerinda Hemasiri Fernando ne Ssaabaduumizi wa poliisi mu ggwanga (IGP) Pujith Jayasundara okulekulira mu bwangu.

Pulezidenti Maithripala agamba nti abatujju abakubye eggwanga ku lunnaku lwa Paasika, baludde nga balabula okutuusa obulabe ku bannansi kyokka Ssaabaduumizi wa poliisi Jayasundara yalemeddwa okunyweza ebyokwerinda.
Mu kiseera kino, omuwendo gw’abantu abaafiiridde mu bbomu abatujju ze beetulisirizzaako mu Klezia ssatu (3) ne wooteeri nnya (4) mu Sri Lanka gulinnye. Kati bali 300 ate abalala abasukka 500 bapooca n’ebiwundu mu malwaliro agenjawulo. Obulumbaganyi buno bwabaddewo ku Ssande nga 21, April, 2019 ng’abagoberezi ba Kristu bali mu Mmisa ku mazuukira.
Gavumenti ya Sri Lanka erangiridde bw’egenda okuliyirira famire z’abaakoseddwa zonna omuli okusasulira eby’okuziika n’okutambuza emirambo.
Pulezidenti Maithripala agamba nti abakulu mu bitongole ebikuuma ddembe okulemwa okunyweza ebyokwerinda, y’emu ku nsonga lwaki abantu abasukka mu 300 battiddwa ku lunnaku lumu.
Bigiddwa ku mukutu ogwa Menafn