Omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine akakasiza nga bwatagenda kweyanjula ku kitebe kya bambega ba poliisi e Kibuli olunnaku olwaleero kuba mukoowu nnyo.

Fred Enanga
Fred Enanga

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Bobi Wine alindiriddwa olunnaku olwaleero ku ssaawa 4 ez’okumakya okuwa sitetimenti ku misango gy’okukuma mu bantu omuliro sabiti eno ku Easter Monday, Poliisi bwe yali emulemeseza okugenda mu maaso n’ekivvulu kye ekya ‘Kyarenga Extra’ ku One Love Beach Busabala.

Medard Lubega Ssegona
Medard Lubega Ssegona

Wabula munnamateeka wa Bobi Wine, Medard Lubega Ssegona agambye nti omuntu we mukoowu nnyo kuba olunnaku olw’eggulo yabadde mu kuziika e Bugiri Hajji Siraji Lyavala.
Mungeri y’emu Ssegona agambye nti Bobi Wine abadde mu mikono gya Poliisi okuva ku Mmande nga bamusibidde mu makaage era Poliisi yabadde esobola okweyambisa omukisa ogwo, okumugyako sitetimenti ku nsonga yonna.

Ssegona era agamba nti Bobi Wine alina emirimu gye nga talina kwewuuba ku Poliisi buli lunnaku.