Omuyimbi Cindy Sanyu alaze nti nnyina y’omu ku bantu bakolerera okusobola okweyagalira mu nsi.
Gyebuvuddeko Cindy yategeeza nti yasobola okuzimbira nnyina ennyumba okuva ku ssente zafuna mu kisaawe ky’okuyimba.
Cindy y’omu asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram, okulaga nti olunnaku olw’eggulo, yatutte nnyina okulya ku bulamu ku National Theater.
Mu bulamu omuntu yenna ng’ali maama, okyalina ekirabo eky’amaanyi ku nsi era y’emu ku nsonga lwaki Cindy amwenyumirizaamu n’okulaga essanyu, “My date tonight
Took my mum out to the national theater for a good laugh. Was special“.
Kinajjukirwa nti ku lunnaku lw’abakyala, omuyimbi Ykee Benda yasobola okutambuza nnyina era yamutwala mu Saluuni okumukolako omuli n’okusiba enviri.
Download the Galaxy FM 100.2 App and listen to the radio while on the move.