Abamu ku bannayuganda abateberezebwa okuba abawagizi ba Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni, balabudde omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine okukomya okulowooza nti alwanirira bantu bonna.
Olunnaku olw’eggulo, Bobi Wine bwe yabadde mu kkooti ya Buganda Road, yagambye nti talina musango gwonna wabula okulwanirira bannayuganda bonna omuli n’abalamuzi era y’emu ku nsonga lwaki Gavumenti ya Pulezidenti Museveni etandise okumugulako emisango.
Wabula abamu ku bannayuganda abasobodde okuwayamu naffe mu Kampala, bagambye nti, “Bobi Wine ayinza okuba alwanirira ffe naye ani yamutuma kuba ffe tukooye okutulemesa okutambuza emirimu gyaffe, ffe tukola mmere ya leero“.
Mungeri y’emu bagambye nti, ” Bobi bw’aba ayagala obwa Pulezidenti alina okulinda ekiseera kya kampeyini kuba naye atandiise okutulemesa emirimu nga Dr Kizza Besigye bwazze akola n’okukwasa abavubuka abatalina musango gwonna“.
Mu mbeera eyo, omu ku basuubuzi mu bitundu bye Kalerwe ng’ali mu myaka 50 Nakamya Sarah, agambye nti olunnaku olw’eggulo Poliisi yabakubyemu amasasi n’omukka ogubalagala nga kivudde ku Bobi Wine, alina okukimanya nti ffe twakoowa dda bannabyabufuzi okutataaganya emirimu gyaffe kuba Pulezidenti Museveni atufuze bulungi.