Entiisa ebutikidde abatuuze, mukyala wa ssentebbe w’ekyalo bwe yetuze olwa bba okugaana okumuwa akaboozi okumala ennaku eziwera n’okulemwa okumulabirira.
Stella Atai, myaka 50 abadde mutuuze ku kyalo Oswapai mu ggoombolola y’e Atutur mu disitulikiti y’e Kumi, era abadde bba wa ssentebbe Simon Akol.
Omulambo gwa Atai gusangiddwa ku muti nga gulengejja mu kakubo, akagenda ku luzzi okumpi n’amaka gaabwe.
Okusinzira ku batuuze, omukyala aludde nga yemulugunya ku bba, okulemwa okwegatta naye nga kigambibwa abadde alina abakyala abalala.
Omugenzi ku myaka 50, abadde alina abaana bataano (5), abadde alumiriza bba, okuba n’abakyala abasukka mu basatu (3) nga basanyusa mu nsonga z’omu kisenge.
Akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku kitebe kya Poliisi e Kumi, Oscar Okwir agambye nti wadde omukyala yasse, Poliisi etandiise okunoonyereza.