Omukyala Susan Makula Nantaba ayimiriza omukolo gw’okwanjula Paasita Aloysius Bugingo owa kkanisa ya House of Prayer e Makerere – Kikoni mu bazadde be ogubadde gwengedde.

Kigambibwa omukolo gubadde gutegekeddwa mu August wa 2019 kyokka ku lunnaku olwa Ssande Paasita Bugingo yeesitudde n’agenda mu maka g’abakulu abazaala omugole Susan e Kyebando.

Kigambibwa aba famire y’omugole Susan basabye Paasita Bugingo okuyimiriza omukolo olw’embeera ey’obunkenke eriwo ekkakkane.

Embeera eyo, kiddiridde mukyala wa Bugingo ow’empeta, Teddy Naluswa okukola olulumba ku Ssande n’agenda mu kkanisa okwetaba mu kusaba era yataddewo embeera ey’obunkenke kubanga yabadde tasuubirwa.

Bugingo ne Teddy
Bugingo ne Teddy

Okusinzira ku musasi waffe, Bugingo ng’awerekeddwaako abantu mukaaga (6) baatuuse e Kyebando ku lw’e Gayaza gye bazaala Susan ku ssaawa nga 11:00 ez’olweggulo era baatambulidde mu mmotoka ssatu (3) okuli Prado, Harrier ne Premio era abamu ku baawaka abeetabye mu kafubo kwabaddeko ssenga wa Susan, Nnaalongo Imelda Kisembo, maama wa Susan n’omugole Susan Nantaba.

Kigambibwa singa omukolo gugenda mu maaso, Teddy ayinza okutabangula omukolo gwonna.