Kyaddaki Weasel Manizo ayogedde lwaki yasalawo okuyimba ne King Saha oluvanyuma lwa mukwano gwe Mowzey Radio okufa mu Febwali wa 2018.
Mu kiseera kino King Saha ne Weasel balina ennyimba omuli Tubikole, Mpa Love n’endala era kigambibwa nti ezimu ku nnyimba zawandiikibwa omugenzi Radio.
Wabula Weasel agamba nti mu Uganda abaana bangi nnyo abalina talenti kyokka yasalawo okuyimba ne King Saha kuba mukwano gwe nnyo okuva emabega.

King Saha
King Saha

Mungeri y’emu agambye nti King Saha amutegeera bulungi nnyo mu kisaawe ky’okuyimba era y’emu ku nsonga lwaki bayimbi Bombi.
Weasel era asambaze ebigambo ebyogerwa nti King Saha yenyigira mu kubba ennyimba za Radio, “King Saha muyimbi mulungi nnyo, ate musajja muwandiisi wa nnyimba, abantu balina okukomya okunafuwa abayimbi kuba King Saha abadde muyimbi mulungi emyaka egiwera ne mukiseera nga Radio tanafa”.