Mu nsi yonna, buli muntu aba n’ekirooto y’emu ku nsonga lwaki abantu balina talenti ezenjawulo omuli abayimbi, bannakatemba, bannamawulire, abasuubuzi, abasambi b’omupiira n’ebitone ebirala oba emirimu.

Mu mbeera eyo, wuuno omuwala ayogeza abasajja obwama mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo ne waaya okuyombera mu mpala zaabwe olw’engeri gyakola ebintu bye.

Omuwala oyo, amannya ge amatuufu ye Phifie Lov, atemera mu myaka 20 era alina ekirooto okuwangula empaka za Miss Uganda ne Africa kuba agamba nti alina buli kimu ekyetaagisa.

Bw’abadde awayamu naffe agambye nti, “ndi muwala mulungi, nina amagezi ate nasoma, sirina musajja ate sinoonya kuba ndi mukoowu nnyo, nze nsubira nsobola bulungi okuwangula ekya Miss Africa kuba sirina njawulo ne Quiin Abenakyo“.

Mu Uganda alina abayimbi abayimba ennyimba ezimuwa essanyu omuli Lydia Jazmine, Rema Namakula ne Julian Kanyomozi kyokka ate ku bayimbi abasajja, amatira nnyo Bobi Wine kuba ayimba bulungi ate alina talenti.

Linda ebisingawo ku Nnalulungi wa Uganda addako……………….