Abawagizi mu ggwanga erya Tanzania batabukidde omuyimbi Diamond Platnumz okwesembereza muganzi we Tanasha Donna mu mwezi gunno ogwa Ramadhan.
Platnumz asobodde okweyambisa omukutu ogwa ‘social media’ okuteekayo ebifaananyi ng’ali ne Tanasha nagamba nti, “Ramadhan Mubarak…Nishatoka mchulia Mazagazaga ya kuvaa mwezi wa Ramadhani na Skukuu kwa .Mpeleke wako ukamchukulie nawe“.
Wabula bannansi nga bakulembeddwamu munnakatemba Idris Sultan balabudde Platnumz okwesonyiwa Tanasha mu mwezi gunno ogw’ekisiibo kuba sibawoowe era tebalina kwenyigira mu kikola kyonna eky’abafumbo omuli n’okunyumya akaboozi.
Sultan agambye nti, “Ahhhhh kidogo nisahau, Mondi inabidi Tanasha arudi Kenyan mpaka Ramadhan iishe“.
Embeera, kitegeeza Platnumz alina okwesonyiwa okunyumya akaboozi okumala omwezi mulamba okutuusa ng’ekisiibo kiwedde.