Oluvanyuma lwa Arsenal F.C. mu ggwanga erya Bungereza okuwangula Valencia CF eya Spain ggoolo 4 – 2, ekkiro ekikeseza olunaku lwa leero n’egiwandula mu kikopo kya Europa Liigi n’omugate gwa ggoolo 7-3, nate likodi emenyeddwa.

Mu kisaawe kya Valencia, Mestalla Stadium kirabu 13 bazikubye omupiira kyokka Arsenal eraze nti esukkulumye nnyo ku kirabu endala kuba ewutudde Valencia 4 – 2.
Obuwanguzi bwa Arsenal, bwagitutte ku fayino ya Europa okusamba ne Chelsea F.C. nga 29, May, 2019.
Naye zizino kirabu 13 ezikubiddwa ku kisaawe kya Valencia
