Kigambibwa okuba nti Paasita Aloysius Bugingo owa House of Prayer Ministries International e Makerere ng’ayita mu balooyabe amaze okubaga ekiwandiiko ekisaba okwawukana ne mukyalawe Teddy Naluswa mu mateeka.

Okusinzira ku kiwandiiko, Paasita Bugingo addukidde mu kkooti entebbe okusaba omulamuzi akirizze okusaba kwe, okwawukana ne mukyala we, gw’alinamu abaana 3.

Kigambibwa Paasita Bugingo alina omukyala omulala Susan Makula era mbu gw’ayagala okuwasa okudda mu bigere bya Teddy.