Waaya etabukidde mu mpale y’omuyimbi Roden Y Kabako era avudde ku siteegi wakati mu bawagizi be okusakaanya nti omuwala akumaze akajjaja.

Kabako yabadde mu bbaala ya Fame e Kololo nga MC Esco ajjaguza olw’okukuuma omutindo ng’asanyusa abantu ku Ttiivi, ebivvulu eby’enjawulo n’okukyalira amassomero.

Ku siteegi, yasoose kuggyamu ssaati n’agikasuka ebbali era wakati mu kuwaga yalumbye abadigize.

Mu mbeera eyo, yasemberedde ekyana era obwedda kizina bwe kiweweeta Kabako ku fulaayi y’empale, ekyatabudde waaya.

Kabako yalabiddwako ku siteegi ng’asobeddwa olwa waaya okutabuka era yavudde ku siteegi wadde yabadde akyalina ennyimba endala.

Ekifaananyi kya Bukedde