Kyaddaki omuyimbi Geosteady avuddeyo ku bigambibwa nti yazaala omwana mu muwala Noeline Nalubega kyokka alemeddwa okumuwa obuyambi.
Nalubega agamba nti ayagala batwale omwana we n’omuyimbi Geosteady ku musaayi okwekebejjebwa endaga butonde (DNA) okuzuula ekituufu kuba ye alina obukakafu obulaga nti omwana wa Geosteady.

Mungeri y’emu agamba nti Geosteady okugaana okumuwa obuyambi era y’emu ku nsonga lwaki ensonga yazitutte mu bannamawulire era asabye Minisita omubeezi ow’ensonga z’abavubuka n’abaana mu gavumenti eya wakati Florence Nakiwala Kiyingi ne Sofia Namutebi Maama Fiina okuyingira mu nsonga ze.
Wabula n’omuyimbi Geosteady agamba nti ayagala omukyala oyo, okuleeta omwana bamutwale ku DNA okuzuula ekituufu kuba okuvaayo okugenda mu mawulire kigenda kutatana ekitiibwa kye n’okusanyalaza emirimu ggye.
Embeera eyo, kiraga nti Geosteady akiriziganyizza n’omukyala okugenda ku DNA okuzuula ekituufu.